Kiosk: ebiragiro by’okusoma

Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:

Okulowooza nga kagezi munyu

Byajjibwa mu kitabo: Okulowooza nga kagezi munyu:

Engeri musanvu ezeyambisibwa bakakensa muzuula na Aristotle, Leonardo Einstein, Edison nabalala byawandikibwa Michael Michalko

"Wadde toli kagezi munyu oyinza okweyambisa engeri zino ezabakakensa nga Aristotle oba Einstein okweyongera mukulowooza mungeri eyekikugu osobole okugonza obulamu bwo obwo maaso".

Engeri zino omunaana ziyinza okuyamba okulowoza mungeri enekuleetera amagoba mukumulungula ebikalubye. "Engeri zino zeyambisibwa nnyo abavumbizi mu byafayo munsi yonna".

1.Tunulira ekizibu mungeri ezenjawulo olabe nti ofuna amakubo nebwegaba gawukana kugabalala gomanyi okusobola okimulungula.

Leonardo da Vinci yazuula nti okufuna amagezi kukumulungula ekizibu sooka ozuule engeri gyoyinza okutunulira mungeri ezenjawulo. Yazuula nti omulundi ogusooka nga ofunye ekizibu obaamu kyekubiira mungeri gyokitunulira mu. Naye bwoba nga addamu okukizimba mubwongo bwo kiba nga kizibu kirara si kiri kyewasoose okulaba.

2. Kuba ekifananyi!

Einstein yatunulira nga ekizibu mungeri nyingi nga kwatadde nokukuba ekifananyi alabire ddala wa aw'okumulungura. Era ye yazula nti emiwendo nebigambo bikola kitono mukulowoza kwe singa aba nekifananyi.

3. Leeta amagoba! Ekimu ku kyotegerera ba kagezi munyu kwekuba nti baleeta amagoba.

Thomas Edison yalina obwananyini ku migabo 1,093. Engeri eyiye yali kakugaba katala buli omu gwakozesa naye yenyini nga abanekitundu kyazanya mukulowooza ku kizibu ekiriwo. Mumusomo gwabanna sayansi 2,036 mubyafaayo , Dean Keith Simonton owa University ya California mu Davis yazuula nti banasayansi bangi abakugu mu byafayo bazuula ebyamagezi bingi nnyo naye ate n'ebilowoozo ebitaatuyamba. Naye singa batya okuzula ebyo ebitayumba n'ebiloozo ebyatuyamba bwebatyo tebandibivumbudde.

4. Yunga ebipya byovumbudde ku birala. Yunga ebirowooza ebifananyi nabuli kimu ekipya kyolina wadde nga oluusi biyinza okulabika obulala.

Amateeka g'ensikirano gava ku mumonaaki omu eyagatta okubala ne sayansi wa biology kale nga wadde byali tebirabika kufanagana.

5. Fanaganya ebirowoozo byo; Gezako okuganaganya ebirowoozo ebitalabika kufanaganya oyinza okujjamu kyoyagala.

Da Vinci forced yafanaganya okuwuuma kw'ekidde nga kikubiddwa ku nsamuka yamazzi nga ejjinja likasukiddwamu. Kino kyamuyamba okuzuula nti eddoboozi litambula mungeri yamayengo nga agamazzi. Samuel Morse yavumbula sitenseni zamaloboozi gesimu nga amaze kutunulira sitenseni zendogoyi ezempaka.

6. Loworeza mubikontana.

Physicist Niels Bohr yazuula nti bwokwata ebikontana oba ebyawuka bibiri obwongo bwo buyinza okutuuka mumutindo omulala mukulowooza. Yazuula nti ekitangaala kiringa katundutundu ate era kiringa jjengo bwatyo navumbula 'complimentarity' mu sayansi.

7. Yiga okwefananyiriza mukulowooza.

Aristotle yazuula nti okwefananyiriza ebitafanagana kabonero ka kagezi munyu. Okugeza okwefananyiriza ennyanja n'okwagala.

8. Oluusi wesigame ku lukisakisa oba 'chansi'

Buli lwetugezako okukola ekintu nekigaana tukola ekirala ekyokisooka mu kutetenkanya 'accident' oba ekintu ekigwawo obugwi. Nemunsobi tukoleramu ekirungi singa tetutunula ku bubi bwa nsobi bwokka. Ensobi byejja tunulira ekkubo mwewayise okkola ekyo wefumitirize kukubo eryo ate olabe kyoyinza okukyusa. Tewebuuza lwaki ogudde wabula kiki kyokoze.

Byajjibwa mu kitabo: Michalko, Michael, Okulowooza nga omukugu: Engeri munaana ezeyambisibwa abakugu mukulooza nga Aristotle, Leonardo, Einstein, Edison nabalala (Amakubo amapya agokuyiga) nga bwebirabika okuva ku http://www.newhorizons.org/wwart_michalko1.html, (June 15, 1999) Bino byasooka kulabika mu THE FUTURIST, May 1998
Michael Michalko yemuwandiisi wekitabo Thinkertoys (ekitabo kya business nobutenkanya ), ThinkPak (A Brainstorming Card Set), and Cracking Creativity: Ebyama bya bakugu mukulowooza (Ten Speed Press, 1998).

Ekiddirira

Okweyigiriza okuyiga | Okusomera awamu | Okulowooza mungeri ey'ekikugu |
Okulowoza mungeri ey'amagezi | Okwejjukanya | Engeri ennungi oy'okuyiga |
Okwefananyiriza kukuyiga | Okwewala obugayaavu'ndikikola luli' |
Okusengeka obulungi bye oyiga naddala emirimu eminene |
Okukozesa obulungi obudde bwo | Okulwanyisamu obukowu n'okwetamwa |
Okuba n'ebigendererwa n'okwepimira ebiseera