Kiosk: ebiragiro by’okusoma

Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:

Okukolera mu bibinja

Ekirowoozo:
Ekibinja mwosomera bwekikora entegeka ennungi mungeri
z'okuyiga kiba kigonzezza nnyo ate era nga kyanguyizza okuyiga.

Institute for Research on Learning (IRL)
http://www.irl.org/projects/projects.html, (September 16, 1998)
Kiki ekigenda okolebwa Ani akiwomyemu omutwe Kikoleddwa kitya kikoledwa ddi:
Okumanyagana naddala mu bigendererwa bya buli omu ate n'ebisanyizo bye: Buli omu mu kibinja Olusisinkana olusooka.
Omuwandiisi, Anayitanga abantu, omukubiriza oba ow'obuvunanyizibwa mu ngeri endala yetaagibwa. Buli omu mu kibinja.
  • Kino kisalibwawo mu lukungana lwa ekibinja.
  • Ebisanyizo: Okwevamu naddala mu mirimu gy'obwa nakyewa, obumanyirivu, okwagala okuyiga,
  • Ngeri ki ebiteeseddwa gyebibunyisibwamu eri bannakibiina?
    • Bulijjo ebiteesedwako biyisibwengamu amaaso okulaba omulimu gwa ekibiina nga bwegutambula.
Olusisinkana olusooka
Empuliziganya y'ekibiina:
Basinkana emirindi emeka era mungeri ki.
Buli omu mu kibinja
  • Okusinkana maaso ku maaso. Enkungana: obudde n'ekifo
  • Essimu: olukalala lwa essimu za bannakibiina n'obudde obutuufu okusisinkana
  • e-mail: Olukalala lwazo.
Olusisinkana olusooka
Ebigendererwa mu bufunze Buli omu mu kibinja Ekirowoozo:
  • Buli munnakibiina awandiike wakiri ebigendererwa bisatu ebyekibiina.
  • Ekibinja oluvanyuma kigerageranye ebigenderwa bino kituuke ku nzikiriziganya.
Olusisinkana olusooka
Okusalawo ku ngeri ebigendererwa gyebinatukirizibwamu Buli omu mu kibinja.
  • Obukodyo mukutegeka emirimu okuva mu kitabo kya:
    (Gantt, Critical Path, PERT)
  • Obukodyo mukutukirizamu omulimu okuva:
    (word processing, demonstration software (PowerPoint), etc.
  • emitendera mu kutukiriza omulimu
  • Embalirira y'obudde
  • Okwetematemamu obubondo
Olusisinkana olusooka

Obubondo bwebuba obunene: Muddemu ebyo waggulu!

Okunonyereza
  • Okunonyereza mu materekero gyebitabo(library)
  • Okunonyereza okwa wabweru nga wetukolera newalala
  • Okunonyereza mungeri endala.
Okwefumitiriza kubizuuliddwa mukunonyereza.
  • Okwefumitiriza mumakati g'omulimu
  • Okwerinda okujjuzamu ebikyabula
  • Okunonya obuyambi
Olukalala lw'ebikulu mu mulimu(project outline)
  • Okwanjula omulimu ogwo
  • Emitwe emikulu mumulimu ogwo
Okuguwandiika n'okugwanjula
  • entandikwa
  • Amakati
  • Okomekkereza
Ebikulu ku mulimu nga abaguwandiise nebiralala ebyetaaga okwanjula
Okwegezesa
Okwekubamu 'torch' oba ottawaaza mulabe wa awetaaga okwongera amanyi
  • Omulimu nga guwedde
  • Aamakubo agakwatiddwa okugukola
  • Okwenyigiramu
Omulimu mu bufunze
Okuyisaamu nga omulimu tegunayangulwa
Okugwangula
Okwekulisa

Endowooza(Philosophy) y'okukolera awamu

Eno y'endowooza oy'okugatta amanyi, amagezi n'ebitone eby'enjawulo.Okukolera awamu obulungi kwekuyiga obwegasi buno era n'okusobola okweyamba engeri gyetwawukana mu mu butonde bwaffe okugeza nga mu ndowooza n'ebirala okujjamu amagoba.

Enkolagana mu bwegassi buno yesigamye ku kwesigangana.

Obutetenkanya bulijjo kuzibu okulabika nga ekiri mu ndabirwamu. Tekutera kutegerekekerawo. Ebirowoozo bilina kweyambisibwa kutukiriza mulimu si kubitabika nabigendererwa by'abo abenonyeza ebyabye. Amanyi mu kolera awamu gava mu kusobola kutwala maaso ebiroowozo bya bannakibiina.

Obutakanya kyabulijjo mukukolera awamu. Okusobola okumulungula obutakanya buno kyekimu kubivaamu obuwanguzi.

Ebigendererwa ebibiri ebyamanyi mukukolera awamu bibino wammanga:

  • Biki ebiyigiddwa: Amakubo omuyitiddwa okutukiriza omulimu n'ebyamagezi ebiyigiddwa nga omulimu gukolebwa.
  • Kiki ekivuddemu: Ekivuddemu kiri ku lupapula, kyanjuddwa bwanjulwa oba kiri ku lutambi lwa 'cinema'.

Omugaso gw'abasomesa

  • Okufuna amagoba mumulimu kyesinziira nnyo ku kutegera obulungi ebigendererwa by'omulimu ogwo okuva mu kunyonyora kwabasomesa. Awo nno ekibinja kirina omulimu gwa manyi ogw'okutegeera era n'okujjamu ebigendererwa bino amakulu.
  • Omulimu gw'ekibiina gwanguyizibwa nnyo abasomesa abalungi naddala mukulambika omulimu gwekibinja.
    Okusomera oba okolera mu bibinja tekulina kuyisibwamu maaso era ne banna kibiina abagala okuwabwa banabwe balina okwelindibwa anti ekijja omonya, kinyaga bitono.

Okuyozayoza era n'okwewa obubonero:

  • Kino kirina okwesigamizibwa kukwenyiramu kw'abo abayozayozebwa era balina okubako kyebakoze kukumaliza omulimu oba okugutwala maaso.
  • Okuwa obubonero kuno kiba kirungi nekwesigamizibwa kukukakalukana kwabuli omu so si kukugeranya banna kibiina. Kino tekiterebula bannakibiina ababa tebafunye kuyozayozebwa.

Banna kibiina abakozi ennyo ate n'abo abakyabula mu

  • Abo abakozi ennyo batera okuyigiriza abakyabulamu okwerwanako. Mukuyiga kuno ate amagoba gekibiina mu mulimu geyongera. Ate olaba n'abo abakozi ennyo oba abamanyi bwebasomesa abalala nabo benyini abasomesa beyongera okukenguka. Kati awo abakyabulamu baba bayigirizza abo ate ababasinga.
  • Abo abayigiriza era beyongera okuganyulwa mu bukulembeze, muwekakasa kyebasomesa, mukwefuga singa wabaawo obutategeragana n'ebirara ate ebyetagibwa mukuyiga.
Bino byajjibwa mu:
Institute for Research on Learning (IRL) http://www.irl.org/projects/projects.html, (9/16/98);
Barbara Glesner Fines, The Basics of Planning and Convening a Study Group-- 1997, http://www.law.umkc.edu/faculty/profiles/glesnerfines/bgf-ed3.htm (9/22/1998)

 

Ekiddirira

Okweyigiriza okuyiga | Okusomera awamu | Okulowooza mungeri ey'ekikugu |
Okulowoza mungeri ey'amagezi | Okwejjukanya | Engeri ennungi oy'okuyiga |
Okwefananyiriza kukuyiga | Okwewala obugayaavu'ndikikola luli' |
Okusengeka obulungi bye oyiga naddala emirimu eminene |
Okukozesa obulungi obudde bwo | Okulwanyisamu obukowu n'okwetamwa |
Okuba n'ebigendererwa n'okwepimira ebiseera