Kiosk: ebiragiro by’okusoma

Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:

Okwewala omuze ogwa ndi kikola jjo

Engeri ennungi ey'okwewala kino kwekukolerawo ekyo ky'oyagala okkola. Okola kino oteekwa okuba n'omutima ogwala okukikola era nga wekubiriza mu kino.

Webuuze ebibuuzo bino wa mmanga:

  • Lwaki nkola kino?
  • Watya nga sikikoze?
  • Biki byenganyulwa mukukikola?

Bino bwobiddamu ojja kufuna obuvunanyizibwa okutandikirawo ekyo ky'oyagala okola.

Webonereze oba wekulise nga omaze omulimu ogwo
Beera nekilabo mu birowoozo byo ky'ojja okwewa nga omaze omulimu naye bwegukulema tewewa kirabo ekyo.

Beera n'okutya
Manya gwe wekka gwe ojja okwekubiriza. Muli beera nekirowoozo nti bw'otamala mulimu ogwo ojja kugwa ebibuuzo era teri ajja kuyamba okujjako gwe wekka ate era n'omutawaana gujja kugwiira gwe wekka singa oba toyise. Soka omale omulimu olyoke odde mu masanyu kuba kiba kirungi okwesanyusa nga ebirowoozo byo biri wamu.


Byajjibwa ku lutambi lwa cinema(film) Time Management Omuwandiisi D. Ellis, College Survival, Inc.,1990.

Ekiddirira

Okweyigiriza okuyiga | Okusomera awamu | Okulowooza mungeri ey'ekikugu |
Okulowoza mungeri ey'amagezi | Okwejjukanya | Engeri ennungi oy'okuyiga |
Okwefananyiriza kukuyiga | Okwewala obugayaavu'ndikikola luli' |
Okusengeka obulungi bye oyiga naddala emirimu eminene |
Okukozesa obulungi obudde bwo | Okulwanyisamu obukowu n'okwetamwa |
Okuba n'ebigendererwa n'okwepimira ebiseera