Kiosk: ebiragiro by’okusoma

Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:

Kira obulungi

  1. Ebijjukizo:
    Kuno kwekugatta ennyukuta nga buli nyukuta erina ky'oyagala ekujjukize okugeza nga KYO, kabala, yanjala, owumule. Oluusi tukozesa bigambo bilamba naye nga bitujjukiza ennyukuta zetwagala okujjukiza. Okugeza: Kabala Yanjala, Owumule ziba zikujjukiza K, Y, O.
  2. Okusengeka by'oyagala okujjukira mungeri gyebigoberagana
    Okusooka wejjukanye ennyukuta ezisooka oba enkulu mukigambo zosobola okufanya ennamba. Okugeza omusajja nga ye nnamba esooka. Omwana nga ye nnamba ey'okubiri naye oyinza ogenderera amaloboozi kati nga ennyama nokifanya ennamba ey'okuna kuba biwulikika kumpi kyekimu.
    Ekiddako tondawo ekifananyi kubintu by'oyagala okujjukira osobole okubijjukirira ku kifanyi ennyo okugeza okusobola okujjukira omugaati kuba akafananyi nga omugaati kusigidwako omuzigo ogwa bulu bandi (blueband).
  3. Okujjukirira ku bifo: (Osobola okujjukira ebintu ng'abiri)
    Londa ekifo ky'omanyi oba kyojjukira obulungi. Kuba akafanyi nga otambula mu kifo kino nga oyita okugeza nga mulyango, mu diiro, mu kisenge emanju etc... Beera nga eteeka mu buli kintu ky'oyagala ojjukire mu kifo kyakyo. Okugeza singa obadde oyagala kujjukira ebintu bisatu. Ekisumuluzo, Erinya Francis ne langi yekiteteeyi ky' olabye: Kuba akafanyi nti bwobadde oyingira osanze ekisumuluzo ku mulyango bwoyingidde onsanze Francis atudde mu ntebe ate bwotuuse mukisenge osanze ekiteteeyi ekya kilagala kiri mu bulili. Awo omulimu gwokujjukira gujja kuba guwewuse nnyo.
  4. Okujjukirira ku bigambo ebikulu: (Kino okusinga kya nimi ngwiira)
    Nga omaze okufuna ekigambo kyoyagala okujjukira funanyo ekigambo mu lulimi lwo ekiwulikika mu ngeri emu nga ekigambo kyo. Kati kubayo akafananyi ku kigambo kyolumi lwo nga kalimu amakulu agekigambo ky'oyagala okujjukira.

    Okugeza, singa obadde oyagala okujjukira ekigambo 'Enter' ekyoluzungu kifananyirize kukigambo 'Ente' oky'oluganda. Kuba akafananyi nga ente eyagala okuyingira ennyumba. Kati awo buli lwonojukiranga nga ente yenyigiriza mumulyango eyingira ennyumba ojja kujjukiranga 'Enter' kyekitegeeza.
  5. Okujjukira amanya nga weyamba obufanyi bw'okubye mu bwongo.
    Fanaganya endabika y'omuntu nelinya lye. Katugambe erinnya Kato oyinza okulijjukira amangu singa Kato aba mutono kuba kato ne 'katono' bifanagana.
  6. Okuyunga
    Osobola okuyiiya olugero nga buli kirina kyekikujjukiza kuby'oyagala okujjukira.

Byajjibwa mu Bob Nelson okuva mu The Complete Problem Solver by J.R. Hayes, 1989.

Ekiddirira

Okweyigiriza okuyiga | Okusomera awamu | Okulowooza mungeri ey'ekikugu |
Okulowoza mungeri ey'amagezi | Okwejjukanya | Engeri ennungi oy'okuyiga |
Okwefananyiriza kukuyiga | Okwewala obugayaavu'ndikikola luli' |
Okukozesa obulungi obudde bwo | Okulwanyisamu obukowu n'okwetamwa |
Okuba n'ebigendererwa n'okwepimira ebiseera